Namwandu Jolly abyogedde!

Ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni awanjagidde bannayuganda, n’okusingira ddala abavubuka, okusoosowaza eggwanga lyabwe ku buli nsonga yonna.

Museveni ng’asinzira ku kisaawe e Kololo ku mikolo gy’okusabira omwoyo gw’omugenzi Gen. Elly Tumwine n’okujjukira ebirungi byakoledde eggwanga lino, agambye nti Gen. Tumwine, abadde musajja ayagala eggwanga lye mu buli mbeera yonna.

Museveni mu kusaba e Kololo

Museveni agamba nti Tumwine wadde yakosebwa mu bulumbaganyi nga bakayingira ensiko mu 1981, yaddayo mu nsiko okulwana amangu ddala ng’amaze okujanjabwa olw’omutima gwe yalina eri eggwanga lye mu kulwanyisa abantu abakyamu, kwe kusaba buli muntu gy’ali, okutwala ebirungi ebikoleddwa Tumwine.

Museveni ku Tumwine

Gen. Tumwine eyaliko Minisita w’ebyokwerinda, yafiiridde ku myaka 68.

Wabula Museveni agamba nti wadde afudde ekyali muto, asobodde okutuukiriza ebirooto bye.

Gen. Tumwine abadde atya Katonda

Mu bigambo bye, asobodde okugumya famire okwesonyiwa ebigambo by’abantu, ebiri mu kutambuzibwa n’okusingira ku mikutu migatta abantu ku bikwata ku kitaawe Gen. Tumwine.

Museveni asiimye Tumwine

Eri abayizi abasoma ebyafaayo, Museveni agambye nti wadde Tumwine, yeyasooka okufulumya essasi nga bagenda mu lutalo nga abayeekera mu 1981, yali nsobi, era yakikola mu butanwa.

Agamba nti wadde yakola ensobi, olw’amaanyi g’omutonzi, y’emu ku nsonga lwaki bakyali mu ntebe.

Museveni ku ssasi lya Tumwine

Ate Namwandu w’omugenzi Jolly Tumwiine agamba nti bba, nga bali mu nsiko yasaba ensonga 3 era zonna asobodde okuzituukiriza.

Jolly n’abaana

Ezimu ku nsonga mwe muli okunoonya omukyala omulungi, anamuzaalira abaana abalungi ssaako n’okulaba ebirungi, emirembe nga bawangudde olutalo era byonna asobodde okubirabako.

Jolly ku Tumwine

Ate abasawo abaludde nga bakola kyonna ekisoboka okujanjaba Gen. Tumwine, bagamba nti omugenzi, agenda okuddukira mu ddwaaliro ng’afunye ekifuba ekikololwa, ekifuba eky’omunda ekiruma ssaako n’omugongo okuluma nga Kkansa w’amawugwe, amaze okutuuka ku siteegi ey’okuna.

Bano, nga bakulembeddwamu  Dr. Jackson Orem, akulira eddwaaliro lya Kansa e Mulago, agamba nti batekateeka okumutwala  mu ggwanga erya Kenya n’embeera eyongedde okutabuka.

Ng’ali mu ddwaaliro lya Aga Khan mu kibuga Nairobi, Gen. Tumwine wadde yali alongoseddwa, ensigo zaafa nezigaana okuddamu, okola omulimu gwonna.

Sabiti ewedde nga 25, August, 2022, obudde nga busasaana ku ssaawa 12:45 ez’okumakya, omutima gwa Gen Tumwine gwesiba okutuusa lwe yafa.

Alipoota y’abasawo

Gen. Tumwine wakuziikibwa olunnaku olwaleero ku Lwokubiri ku kyalo Mukuru mu ggoombolola y’e Rwemikoma mu disitulikiti y’e Kazo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Szg4EOA0Th8