Omuwala ali mu myaka 26 bamukubidde ebikonde mu loogi mu bitundu bye Lugoba mu Kawempe, bw’agaanye okuddamu okusinda omukwano ne muganzi we.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, omuwala ategerekeseeko erya Prossy, yatuuse mu loogi (amannya gasirikiddwa) ng’ali ne muganzi we ali mu myaka 30.

Ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, omu ku bakozi ku loogi yawulidde okulwanagana mu kisenge kya loogi ng’omuwala ategeeza muganzi we nti akooye.

Omukozi ku loogi ayogedde!

Omukozi ku loogi agaanye okwatuukiriza erinnya lye agambye nti okutuuka mu kisenge ng’omuwala n’omulenzi bali mu kulwanagana.

Kigambibwa omulenzi yabadde alowooza agenda kusula n’omuwala mu loogi era yabadde asasudde ssente shs 30,000 kiro kiramba.

Okulwana mu loogi

Wabula oluvanyuma lw’okusinda omukwano rawundi esooka, omuwala yakooye nnyo, kwe kusaba muganzi we okudda awaka.

Prossy agamba nti muganzi we asukkiridde obunene mu nsonga z’omukwano ate lawundi esooka yaluddewo eddakika ezisukka mu 10 nga yabadde akooye nnyo.

Honey No!

Wadde omusajja yabadde alemeddeko omuwala okusigala ekiro kiramba, Prossy naye yalemeddeko nti alina okudda awaka.

Prossy agamba nti abadde mu laavu n’omusajja ebbanga lya myezi esatu (3) era yabadde agenze mu loogi okusinda omukwano, omulundi gwe ogusooka.

Wadde abaddeko n’abasajja abalala mu kikolwa ky’omukwano, Prossy agamba nti muganzi we ategerekeseeko erya Mike, waya esukkiridde obunene era y’emu ku nsonga lwaki yakooye mu lawundi esooka.

Mike avudde mu mbeera!

Mike agamba nti Prossy yamusuubiza nti bagenda kusula bombi era y’emu ku nsonga lwaki yasasudde ssente za kiro kiramba shs 30,000.

Agamba nti omuwala okwekyanga, kabonero akalaga nti muyaaye kuba yabadde amaze okulya enkoko, chipusi n’eby’okunywa ebirala nga biri mu ssente shs 70,000.

Mike agamba nti wadde omuwala abadde amwagala nnyo era abadde amutaddemu ssente mpitirivu, amukooye kuba alaga nti muyaaye mu bikolwa.

Kyaddaki Prossy awangudde!

Oluvanyuma lw’eddakika ezisukka mu 10 nga bali mu kasenge nnamba 10, Mike alemeddeko Prossy okusigala, kyaddaki Prossy yakutte ensawo okudda awaka.

Mike yasigadde mu kisenge yekka ng’asobeddwa kuba yabadde alina okusalawo okudda awaka oba okusula yekka mu loogi okumalayo ssente ze.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=TlyccuZuguU