Kyaddaki Poliisi mu Kampala ekutte omukyala omugezigezi ku misango gy’okwenyigira mu kubba.

Omukyala Jane Uneza yakwattiddwa ku misango gy’okubba ssente miriyoni emu (1,000,000) bwe yali agenze mu dduka, nga yaefudde ayagala oggula engatto.

Okusinzira katambi akali mu kutambula ku mikutu migatta abantu, omukyala ono nga yali ayambadde ekiteteeyi n’akakooti aka ‘Blue’ n’ensawo ya ‘Black’, yalabiriza omukozi Mugerwa Sarah, n’abba ssente ezaali mu nsawo.

Uneza omubbi w’omu Kampala

Okunoonyereza kulaga nti edduuka lisangibwa ku kizimbe kya Pentagon mu Kampala okumpi n’ekikuubo.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, agamba nti okuva sabiiti ewedde Poliisi ebadde mu kunoonyereza okutuusa Uneza bw’akwatiddwa, ng’asangiddwa ku kkooti ya Buganda Road, gy’abadde agenze ku misango egy’enjawulo.

Patrick Onyango

Uneza wadde asabye Poliisi okusonyiyibwa, atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ku misango gy’obubbi.

Atwaliddwa ku CPS mu Kampala

Mu Kampala, ababbi beyongedde okubba n’okusingira ddala abakyala mu Supermarket wabula bangi bakwatiddwa olwa Poliisi okweyambisa kkamera enkessi okubanoonya.

Ate olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, Poliisi mu Kampala yakutte abantu abasukka 80 mu bikwekweeto by’okunoonya ababbi abeyongedde okwenyigira mu kubba amassimu, ensawo z’abakyala, okusala ensawo n’okubba okwengeri ez’enjawulo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=r-TGtSmv_hk&t=31s

Bya Nalule Aminah