Muk’omusajja akoze obwenzi!

Omukyala nga mutuuze we Kawempe avudde mu mbeera oluvanyuma lw’okuzuula nti bba, ategerekeseeko erya Moses, musajja bwenzi era alina abakyala abalala.

Omukyala ategerekeseeko erya maama Isma agamba nti bba sabiiti ewedde yamutegezezza nti yabadde agenze ku mirimu, okumala ennaku 3.

Wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti yewunyizza okuzuula nti bba, yali agenze mu loogi n’omukyala omulala.

Maama Isma agamba nti yaguddewo ekigwo, bwe yakebedde essimu ya bba akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, nga mulimu ebifaananyi bye ng’ali mu laavu.

Lwaki yakebedde essimu!

Agamba nti wadde alina essimu ye, abadde yeekengera omusajja okuva mu Gwokutaano era abadde ayongedde okukyuka.

Maama Isma agamba nti mutabani we myaka 7 bwe yabadde azannya obuzannyo ku ssimu ya kitaawe, yasobodde okweyambisa omukisa ogwo, okusaba ‘Password’ ya kitaawe.

Oluvanyuma, yasabye omwana essimu era yatuukidde ku WhatsApp nga bba waliwo ennamba mu linnya lya Annet, eyabadde amusindikidde ebifaananyi.

Mu kwekebejja ebifaananyi, kwe kuzuula bba nga yabadde mu laavu n’omukyala omulala era amangu ddala, yatandikiddewo okukaaba.

Taata Isma avudde mu mbeera!

Omusajja oluvanyuma lw’okutegeera nti omukyala ategedde nti yabadde n’omukyala omulala muk’omusajja, naye yavudde mu mbeera.

Taata Isma yatabukidde mukyala we lwaki amulondoola era lwaki yakebedde mu ssimu ye.

Amangu ddala, omusajja yatambudde okuva awaka kyokka omukyala yasigadde mu maziga.
Olw’obusuungu, maama Isma agamba nti agenda kusasaanya ebifaananyi bya bba ng’ali n’omukyala ku mikutu migatta bantu kuba kati takyamwetaaga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=PieF1_O0HvM