Omukazi atabukidde bba ku nsonga z’omu kisenge nga kivudde ku kitanda ekikaaba wakati mu kusinda omukwano.

Maama Carol nga mutuuze we Ggaba e Makindye avudde mu mbeera era agamba nti akooye okuswala mu baana ne baneyiba.

Nga busasaana enkya ya leero ku Lwokuna ku ssaawa nga 11, Maama Carol atabukidde bba Taata Carol ategerekeseeko erya Mike nga Kondakita wa Takisi ku luguudo lwa Kampala – Ggaba, ku nsonga ya kaboozi.

Mike alemeddeko ng’ayagala kaboozi wabula omukyala Maama Carol agamba nti akooye eby’okuswala.

Maama Carol agamba nti ekitanda kisukkiridde okukaaba ‘kwiqu kwiqu’ nga bali mu kaboozi, ate mu nnyumba mu kisenge, balina abaana okuli owa S4.

Agamba nti amaze ebbanga ng’asaba bba okunoonya ssente bafune ekitanda ekipya, baddemu okunyumirwa ensonga z’omukwano wabula bba agamba nti talina ssente kyokka buli wikende, asula mu bbaala.

Maama Carol alemeddeko, agamba nti ng’omuzadde, kati aswala okudda mu kusinda omukwano ng’abaana mu nnyumba, bonna bategeera nti kati bali mu kikolwa.

Wadde omusajja Mike abadde alemeddeko ku nsonga z’akaboozi, omukyala agamba nti omwana wa S4 ne P7 kati bantu bakulu nga singa badda mu kaboozi ng’ekitanda kikaaba, kyongera okwonoona abaana baabwe.

Eri Baneyiba!

Olw’ekitanda okukaaba ennyo, maama Carol agamba nti wadde misana nga tewali mwana yenna waka, singa badda mu kaboozi, baneyiba balina okumanya nga kati akooye okuswala ng’omuntu omukulu.

Awadde bba Mike amagezi okunoonya ssente bafune ekitanda ekipya bw’aba ayagala okuddamu okusinda omukwano.

Omusajja alemeddeko!

Wadde Mike akedde kugenda ku mirimu gye era waya ebadde nyiivu nnyo kuba eremeddwa okufuna ku ssanyu, alemeddeko nti maama Carol alina okutegeera ensonga lwaki ali mu bufumbo.

Agamba nti wadde ekitanda kikaaba, naye muntu mukulu era asobola okunoonya obukodyo obw’enjawulo okusinda omukwano nga tewali kulaga baana.

Okugenda ku mulimu, zibadde zigenda mu ssaawa 12 ez’okumakya wakati mu kulabuka mukyala we maama Carol okwetereeza.

Neyiba ayogedde!

Omu ku baneyiba maama Sarah naye awagidde ekya maama Carol okugaana bba okuddamu okusinda omukwano olw’ekitanda.

Maama Sarah agamba nti ekitanda kibadde kisukkiridde okukaaba era naye abadde yakoowa dda kyokka abadde atya okubagambako kuba bonna bantu bakulu ate balina baana.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=XHiO5LiMnAM