Abasajja bakanudde amaaso….

Mu kiseera nga bangi ku bannayuganda bakaaba obwavu n’ebintu okweyongera okulinya omuli sukaali, sabuuni, omuceere, akawunga n’ebirala, ekiro ebintu bikyuka, abantu balya obulamu n’okusasaanya ssente nga tewali kulowooza mbeera yonna.

Ku 911 ku luguudo lwe Salaama e Makindye, abadigize baavudde mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo mu kivvulu kya White Party, ekitegekebwa DJ Nimrod, omukozi ku 100.2 Galaxy FM mu Pulogulaamu ya Evening Rush okuva ku Mmande okutuusa ku Lwokutaano okuva ku ssaawa 9 – 1 ey’ekiro.

Mu kivvulu, Nimrod yaleese abayimbi ab’enjawulo omuli Ziza Bafana, Feffe Bussi n’abalala era kyasombodde byana ebyamyuka ebithambi.

Wakati mu kulya obulamu, omu ku bawala, yalabiddwaako ng’ali n’abasajja basatu banyumirwa obulamu era bonna baafunye omukisa okumunywegera, abasajja abalala nga bakanudde amaaso.

Ebifaananyi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Bzv_ZGbThRQ