Abawala abasamba ogw’ensimbi (Bamalaaya) balwanidde omusajja mu bitundu by’omu Kataba, Kabalagala e Makindye, ekivuddeko okwerangira ebisongovu.

Abawala nga bonna bali mu myaka 24 – 27, buli omu abadde alumiriza munne, okutwala omusajja.

Kigambibwa ku ssaawa nga 5 ez’ekiro ekikeeseza lwaleero, omusajja ali mu myaka 30, agenze mu Kataba okufuna malaaya, ng’abadde ali mu muudu y’akaboozi.

Abamu ku batuuze bagamba nti omusajja abadde afunye malaaya ategerekeseeko erya Prossy ku ssente shs 10,000 okumala essaawa 2 mu loogi wabula omusajja abadde akyalinda Prossy okugenda, kwe kulaba malaaya omulala Annet ate ne bakaanya ku ssente shs 7,000, okumala essaawa zezimu.

Prossy agenze okudda okugenda n’omusajja, nga Annet akutte omusajja ku mukono, ekivuddeko embeera okusajjuka.

Ng’omukyala omulala yenna anoonya eky’okulya, Prossy atabukidde Annet okutwala kasitoma era embeera evuddeko okulwana n’okuyombagana.

Wakati mu kulwana nga Prossy ne Annet bonna bakutte omusajja ku mukono, abatuuze n’abadigize beyongedde okuva mu bbaala, okulaba ekigenda mu maaso n’abakyala abalala, abalenga omukwano okuvaayo ku midaala gyabwe.

Prossy ayongedde okuva mu mbeera era amangu ddala akunamidde Annet, nti wadde ali mu kwetunda, akyali muwala muto ku Annet.

Wadde Prossy ayogedde ebigambo bingi, Annet omusajja avuddewo naye okugenda mu loogi ku shs 7,000 zokka wakati mu batuuze okusakaanya.

Abamu ku bakyala abalala abalenga omukwano, balabudde Annet ne Prossy, okukomya okulwana kuba kyongera okulemesa abasajja okuggya mu kitundu kyabwe.

Mu Kataba, Bamalaaya batunda omukwano okuva ku shs 3,000 wabula kigambibwa ekyo, kivuddeko endwadde z’ekikaba okweyongera.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q