Poliisi y’e Bushenyi etandiise okunoonya abatemu, abenyigidde mu kutta Susan Kyatuhaire myaka 23, abadde omuyizi ku Valley Yunivasite mu disitulikiti y’e Bushenyi.

Kyatuhaire abadde asoma busomesa mu mwaka ogwokusatu era omulambo gwe guzuuliddwa enkya ya leero mu maaso g’omuzigo gwe ku kyalo Kitokye cell mu Central Division mu Monicipaali y’e Bushenyi Ishaka.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Greater Bushenyi, Martial Tumusiime, Kyatuhaire yalabiddwako ekiro k’olunnaku olw’eggulo ku ssaawa nga 2 ez’ekiro mu katawuni k’e Bushenyi.

Susan Kyatuhaire attiddwa

Tumusiime agamba nti mu kunoonya abatemu, Poliisi esobodde okweyambisa embwa ekonga olusu era omuntu omu akwatiddwa okuyambako mu kunoonyereza.

Waliwo ebigambibwa nti Kyatuhaire ayinza okuba yattiddwa mu kifo kirala, omulambo ne guleetebwa okumpi n’omuzigo gwe.

Aijuka Kukundakwe, abadde mukwano gw’omugenzi nga basula bombi mu kazigo, agamba nti yakomye okwogera naye akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu ku Yunivasite era yabadde alina byagenda okukola mu katawuni k’e Bushenyi kyokka aguddewo ekigwo okukeera ku makya ng’omulambo gwa Kyatuhaire guli kumpi n’omuzigo gwabwe nga gwonna guli bukunya.

Susan Kyatuhaire abadde asoma busomesa

Kukundakwe agamba nti omugenzi abadde mukwano gwa buli muntu nga tasuubira ate ayinza okuttibwa.

Ssentebe w’ekyalo Kitokye, Milton Mwebembezi asabye Poliisi okunoonyereza okuzuula abatemu nga kiswaza okutta omuwala omuto.

Mwebembezi asabye Gavumenti okuyamba okuteeka kkamera ku nguudo, okuyambako mu kulwanyisa abazzi b’emisango.

Kigambibwa Kyatuhaire yasobezeddwako oluvanyuma n’attibwa.

Poliisi esobodde okutwala omulambo mu ddwaaliro lya Kampala International Teaching Hospital e Ishaka, okwekebejjebwa.

Alipoota ya Poliisi mu disitulikiti y’e Bushenyi eraga nti omwezi oguwedde ogwa October, 2022, yafuna emisango 5 egy’obutemu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=H-0B6e86Fz4