Omuyimbi Edirisa Musuuza amanyikiddwa nga Eddy Kenzo, ayongedde okulaga nti ddala kati muyimbi wanjawulo nnyo mu Uganda kati n’ensi yonna.
Sabiiti eno, Kenzo yalondebwa okuvuganya mu ‘Award’ ezisinga amaanyi mu nsi yonna eza Grammy.
Mu Uganda, Kenzo ye muyimbi yekka alina Award ez’enjawulo omuli BET, Nickelodeon n’endala era sabiiti ewedde, yabadde alina ekivvulu kya Eddy Kenzo Festival, ekisoose mu Uganda.

Kenzo musajja muwanguzi

Ng’omuntu omulala yenna, ne Kenzo okutuuka ku buwanguzi obw’enjawulo, tekimugaana kulya bulamu.
Wadde talina mukyala amanyikiddwa mu kiseera kino, Kenzo bwe yabadde mu Cask Lounge mu Kampala, yalabiddwako ng’ali n’ebyana eby’enjawulo.

Bamukubye akaama


Wadde yabadde n’ebyana eby’enjawulo, ekimu ku kyana nga kizungu, kyamukubye akaama mu ngeri y’okwetega.
Bino byona byabaddewo nga muyimbi munne Bebe Cool akanudde amaaso.

Bebe Cool kati y’omu ku bayimbi abali mu ssanyu, lwa Kenzo okulaga nti ayinza okuwangula Grammy.

VIDIYO!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=7RVZ4c_MMQI