Omusomesa ku Yunivasite e Makerere, Wandera Bernard aguddwako emisango 2, bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Fredlis Ottawo wali ku Buganda Road mu Kampala.

Omulamuzi Ottawo amusomedde emisango 2 egy’okukuba n’okulumya abayizi 2 okuli Mirembe Prisca Lwosa ne Aikoro Patricia.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Wandera yatimpula abayizi empi, sabiiti ewedde ku Lwokuna nga 17, omwezi guno ogwa November, 2022.

Mu kkooti, ayimbuddwa kakalu ka ssente, miriyoni emu n’ekitundu (shs 1,500,000) ez’obuliwo ate abamweyimiridde obukadde 50 ezitali za buliwo.

Omulamuzi Ottawo, alagidde Wandera okudda mu kkooti, nga 15, omwezi ogujja ogwa Desemba, 2022 nga kivudde ku ludda oluwaabi, okufundikira okunoonyereza.

Wadde Wandera asimbiddwa mu kkooti, abamu ku bayizi ku Yunivasite e Makerere, basabye abakulu ku Yunivasite okunoonyereza ku basawo baabwe.

Abayizi bagamba nti bakooye okuyisibwa ng’abaana abato ate bonna bantu bakulu bali waggulu w’emyaka 18.

Basabye Yunivasite okunoonyereza kuba ebiriwo omuli ne Wandera okukuba abayizi, kabonero akalaga nti abamu ku basomesa bayinza okuba banywa enjaga, abamu balina ebirowoozo ssaako n’ebizibu, nga balina okuyambibwa.

Mu kiseera kino, Yunivasite yayimiriza Wandera, era okunoonyereza kugenda mu maaso wadde yatwaliddwa mu kkooti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=8Dxuf7L4ktM