Kyaddaki Prima Kardashi abotodde ekyama lwaki Mr Henry akyamwetaaga mu bulamu wadde yazzeeyo eri bba, taata w’abaana, omuyimbi Geosteady.
Oluvanyuma lwa Prima okufuna obutakaanya ne Geosteady, amangu ddala yafuna Mr. Henry okumumalako ennyonta y’okusinda omukwano.
Ng’omusajja omulala yenna, Mr Henry yali ne Prima mu laavu okumala ebbanga era yagikuba n’omutima gumu wadde yalemwa okumuzaalamu omwana.

Prima, Geosteady ne Famire


Wadde Henry yali awadde Prima omutima gwe, baafuna obutakaanya okutuusa okwawukana.
Mu kiseera kino Mr. Henry ali ku mirimu gye kyokka Prima wakati mu kutambuza emirimu, alaga nti yazzeeyo era kati ali mu laavu ne Geosteady, okuddamu okukuza abaana baabwe.

Prima ne bba mu laavu


Wabula Prima agamba nti wadde yayawukana ne Mr. Henry, amwetaaga mu bulamu.
Prima agamba nti wadde Henry talina mukisa gwonna kuddamu kugikwatako, balina okusigala nga batambuza emirimu.

Prima ne Mr Henry nga bakyali mu laavu


Agamba nti Henry musajja mulungi nnyo mu kutambuza emirimu era singa afuna ddiiru, alina okumukubira essimu, okunoonya ssente.

Vidiyo!

Ebirala ebifa ku Prima – https://www.youtube.com/watch?v=03kM8oRdLNc