Wakati mu kwefumintiriza ku ngeri y’okulwanyisa siriimu okweyongera okusasaana, nate wuuno omuyizi ku yunivasite emu kw’ezo eziri mu Kampala, ali mu maziga, olwa ‘Boyfriend’ we okumusiiga obulwadde.

Omuwala ono ali mu myaka 21 (amannya gasirikiddwa) wadde ali ku ddagala, naye asobeddwa eka ne mu kibira.

Agamba nti yali mu laavu ne ‘Boyfriend’ we (amannya gasirikiddwa) okumala ebbanga lya mwaka mulamba kyokka oluvanyuma yafuna obutakaanya wakati waabwe era ne bawukana.

Nga wayise ebbanga, omulenzi yakomawo ne baddamu omukwano, kyokka baddamu okwawukana mu bbanga lya myezi 2.

Omuwala wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti, yagenda mu ddwaaliro okwekebeza siriimu mu by’okusaaga ne bakamutema nti mulwadde.

Mu kiseera kino ali ku ddagala okuva ku ddwaaliro lya Nsambya Home Care e Makindye.

Ku myaka 21, agamba nti tannaba kutegeeza famire ne bagandabe era eddagala alikweka n’okumira mu nkukutu.

Bw’abadde awayamu naffe, alabudde abavubuka mu ggwanga lyonna, okukomya okweyambisa amaaso, okukebera abawala kuba bangi balwadde wadde balabika bulungi.

Omuwala ali mu maziga

Ate Dr. Paul Kirumira okuva ku Nsambya Home Care, omu ku basawo, abaludde mu kujanjaba abalwadde ba siriimu n’okubudabuda abalwadde, agamba nti siriimu okweyongera ku myaka emito n’okusingira ddala mu bawala abali wansi w’emyaka 24, kivudde ku bulagajjavu okweyongera n’okwegomba okusukkiridde.

Dr. Kirumira, agamba nti abawala okwagala ssente ennyo, y’emu ku nsonga lwaki bangi balemeddwa okutwala abasajja ku musaayi, okuzuula ebikwata ku bulamu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=2UUet2F7Weg