Omuyimbi munnansi wa Nigeria wa ‘Afrobeat’ Oladapo Daniel Oyebanjo amanyikiddwa nga D’banj akwatiddwa ku misango gy’okubulankanya ssente ez’okuyamba abavubuka, okutandikawo emirimu n’okwekulakulanya.

D’banj yalondebwa nga Ambasadda wa N-Power initiative mu 2016, eyatongozebwa omukulembeze w’eggwanga eryo Muhammadu Buhari, okuyambako mu kulwanyisa ebbula ly’emirimu.

Wabula okuva 2016, abavubuka bangi bakaaba, nga bagamba nti tebalabanga ku ssente era kigambibwa D’banj, ssente abadde zibulankanya.

Okusinzira ku kitongole ekiri ku ddimu ly’okulwanyisa enguzi mu Nigeria, okuva 2016 Biriyoni za Naira zibiddwa.

Kigambibwa D’banj abadde afuna ssente okuwa abavubuka okutandiika emirimu wabula ng’atwala ntwale okuteeka mirimu gye.

Mu Nigeria, abavubuka abasukka miriyoni 2 wakati w’emyaka 18 – 35 tebalina mirimu era Gavumenti yali esuubira okubayamba nga bayita mu N-Power.

Wakati mu kulwanyisa obuli bw’enguzi, D’banj wadde akwatiddwa, Poliisi eri mu kunoonya banne, abagambibwa okwekobaana okulya ssente za Gavumenti.

Omuyimbi D’banj amanyikiddwa nnyo olw’ennyimba ze omuli Fall in Love, Emergency, If No be God, Feeling the Nigga n’endala.

Ebirala ebifa mu nsi – https://www.youtube.com/watch?v=LLQFx_FqoME