Abantu 9 bafiiriddewo ate bangi baddusiddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi, bbomu bwezibwatuse mu kibuga Mahas mu ggwanga lya Somalia.

Abatujju, basobodde okweyambisa emmotoka 2, omuteekeddwa bbomu ez’ebika eby’enjawulo era zibwatuse omulundi gumu.

Abantu bangi bafunye ebisago era 9 bafiiriddewo ate abangi ku baddusiddwa mu ddwaaliro, zibakutudde emikono, amagulu nga bali mu mbeera mbi.

Bbomu mu Somalia

Kigambibwa, abatujju bakabinja ka al-Shabab bebakoze obulumbaganyi.

Mu kiseera kino ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye, bayungudde abawanvu n’abampi, okunoonya abatujju.

Ate Minisita w’ebyokwerinda mu ggwanga erya Russia, agamba nti amaggye ga Ukraine, gasobodde okweyambisa emirongooti, okuzuula wa gye bekwese, okutta abantu baabwe.

Bakomando ba Russia battiddwa

Minisita agamba nti bannamaggye be Russia bekwese nga balina amassimu, ekyasobodde okuyamba Ukraine, okubazuula n’okubalumba ku Ssande nga 1, omwezi guno ogwa Janwali, nga twakayingira omwaka omuggya ogwa 2023, ebuva njuba bwa Ukraine.

Russia egamba nti bannamaggye 89 bebattiddwa ate Ukraine egamba nti yasobodde okutta bakomando ba Russia abasukka mu 400. Ensi zonna zifiiriddwa abantu bangi ddala, bukya okulwana kutandiika nga 14, Ogwokubiri, 2022, Russia bwe yakola obulumbaganyi ku Ukraine.

Ebirala ebifa mu nsi – https://www.youtube.com/watch?v=8SRGaMkIBlI&t=89s