Omusajja myaka 40 akubye mukyala we emiggo oluvanyuma lw’okumusanga ng’ali mu laavu n’omusiguze.
Omusajja ategerekeseeko lya Ismail nga mutuuze ku kyalo Kijungu mu ggoombolola y’e Bubango mu disitulikiti y’e Kibaale.
Ismail agamba nti akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, yavudde awaka okugenda okusuubula era yabadde amaze okutegeeza mukyala we Dorah nti wakudda olunnaku olwaleero ku Ssande.
Wabula ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, emmotoka yaabwe ekika Fuso yafudde nga balina okunoonya makanika.
Essimu ya makanika teyabaddeko, Ismail kwe kusalawo okudda awaka, okulinda enkera ku Ssande, okuddamu okunoonya makanika.
Ku ssaawa nga 3 ez’ekiro, yabadde amaze okutuuka awaka kyokka yafunye okutya, okusanga Pikipiki ekika kya Bajaj nga kiri kumpi n’omulyango.
Okutuuka ku ddirisa lw’ekisenge, ng’amaloboozi galaga nti omukyala ali mu kaboozi n’omusajja omulala.
Ismail yakubye enduulu, okuyita baneyiba era amangu ddala omukyala yasabiddwa okuggulawo oluggi okwekeneenya omusiguze.
Okutuuka mu nnyumba, ng’omusiguze y’omu ku bavubuka b’oku kyalo abali mulimu gwa bodaboda ng’ali mu myaka 28.
Omukyala wakati mu maziga yasabye bba ekisonyiwo wabula Ismail okulaga nti yakoowa, yakutte ebintu by’omukyala byonna omuli engoye, nabisuula ebweru.
Omukyala yavudde awaka ng’ali mu maziga n’omusiguze owa bodaboda wakati mu kusakaanya mu batuuze.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=s9ymanqUArM