Omukyala Bainomugisha Constance ali mu myaka 30 asimatuse okufiira mu nnyumba, omusajja bw’ agikumyeeko omuliro ng’amulanga okumusuulawo.

Omukyala Constance agamba nti yakutte abadde muganzi we Abeeri ng’ali mu loogi n’omukyala omulala ategerekeseeko erya Rose ku Kampala Road, kwe kusalawo okumwesonyiwa.

Bainomugisha olw’obusungu, yamukasukidde ebintu bye wabweru omuli engoye kyokka Abeeri ku ssaawa nga 6 ez’ekiro ekyakeeseza ku Lwokutaano, yalumbye omuzigo gwa Bainomugisha gw’abadde apangisa, ku kyalo Israel, e Makindye nagukumako omuliro.

Constance

Bainomugisha yabadde tasuze mu nnyumba nga yafunye ssimu mu kiro ng’ennyumba ekutte omuliro, okutuuka ng’ebintu byonna omuli omuli engoye, emifaliso, ebidomola n’ebintu ebirala nga byonna vvu.

Omukyala Bainomugisha era agamba nti obwenzi bwa Abeeri, y’emu ku nsonga lwaki yamwesonyiye kuba ayinza okuleeta obulwadde.

Mungeri y’emu agamba nti aludde ng’afuna amawulire nti Abeeri ali mu laavu ne Rose nga y’emu ku nsonga lwaki yasobodde okumulinya akagere  okutuuka mu loogi, okuzuula amazima.

Bainomugisha wakati mu maziga, asabye Poliisi okunoonya Abeeri ate asibwe okutuusa okufiira mu kkomera kuba naye yamusuubiza okumutta.

Byonna biyidde

Ate abatuuze nga bakulemeddwamu ssentebe w’ekyalo Omulongo Kizza Nathan Yiga, agamba nti okunoonyereza kulaga nti Bainomugisha okuddayo mu bufumbo obwasooka, kiteeberezebwa y’emu ku nsonga lwaki Abeeri yavudde mu mbeera okutuusa okwagala okutta omuntu.

Ssentebe Nathan Yiga  agamba nti Abeeri okwagala okutta Bainomugisha kikolwa kya butemu, kwe kusaba Poliisi okumunoonya okutuusa ng’azuuliddwa.

VIDIYO!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=jNsFG6sXehk