Omuyimbi Ronald Bamukisa amanyikiddwa nga Top K agguddwako emisango gy’okusobya ku mwana omuto.

Omuyimbi Top K amanyikiddwa nnyo mu kibuga kye Mbale era yakwatiddwa ng’ali mu loogi ya ‘Green Summer bar and lodge’ mu kibuga Jinja ng’ali n’omwana myaka 13.

Top K yasuze ku kitebe kya Poliisi e Jinja okulinda okutwalibwa mu kkooti.

Taata w’omwana agaanye  okwatuukiriza amannya ge agamba nti Top K bwe yali mu kivvulu mu disitulikiti y’e Kayunga, yasaba abaana abawala okumwegatako, okuzinira mu nnyimba ze.

Taata agamba nti Top K yafuna abaana ab’enjawulo okuva mu bazadde ab’enjawulo kyokka okuva omwezi oguwedde, abadde asula n’abaana mbu, balina okutendekebwa buli kiro.

Mungeri y’emu agamba nti Top K yava e Kayunga ne muwala we ku Lwokutaano ekiro, yazzeemu okufuna amawulire ku Ssande nti Top K bamukwatidde mu loogi ya Green Summer lodge mu kibuga Jinja ne muwala we.

Top K agamba nti wadde yakwatiddwa, ebyogerwa nti yabadde ali mu kusobya ku mwana mu loogi, byabulimba.

James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira agamba nti Top ali ku misango gy’okuwamba n’okusobya ku mwana.

Mungeri y’emu Mubi agamba nti alipoota y’abasawo egenda kuyamba nnyo okuzuula ekituufu.

Ate abatuuze mu kibuga Jinja, bawanjagidde ekitongole ekya Poliisi, okunoonyereza okuzuula amazima, bwe kiba Top K alina emisango, bamutwale mu kkooti avunaanibwe mu mbuga z’amateeka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=s9ymanqUArM&t=62s