Poliisi ekutte taata Joseph Duhimbaze myaka 27 omutuuze ku kyalo Taaba mu ggoombolola y’e Nyakinama mu disitulikiti y’e Kisoro ku misango gy’okutuga muwala we, okutuusa lwe yamusse.

Omwana Ostin Irunva attiddwa, abadde mwaka gumu n’emyezi 7.

Omukyala, Irakunda Specioza myaka 25, agamba nti ekiro ku nga ssaawa 9, bba yakomyewo era yatuukidde mu kisenge, omwana gye yabadde yeebase.

Amangu ddala yawulidde omwana ng’akaaba, okutuuka mu kisenge nga bba (taata) ali ku mwana amutuga.

Maama wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti wakati mu kutaasa omwana, omusajja yamukubye ekikonde era yakubye enduulu, eyasombodde abatuuze okutaasa embeera.

Abatuuze webatuukidde ng’omwana amaze okufa.

Amangu ddala Poliisi yayitiddwa, omulambo ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Kisoro okwekebejjebwa.

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agamba nti omusajja aguddwako emisango gy’obutemu.

Ate Poliisi e Soroti ekutte omusawo w’ekinnansi ku misango gy’okusangibwa n’obuwangwa gw’abantu.

Okukwatibwa kwa Julius Okodi, kyavudde ku kufa kwa Simon Edou myaka 52 nga 21, March, 2021.

Edou yabula okuva awaka okumala ennaku 5 era aba famire nga bakulembeddwamu muto w’omugenzi Moses Ekatu kwekutwala ensonga ku Poliisi y’e Asuret Police Station.

Kigambibwa omugenzi yali alina obutakaanya ne mukyala we Jennifer Kongai kubigambibwa nti yali mu laavu n’omusajja omulala Emmanuel Peter Ediangu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Busoga East Oscar Gregg Ageca, okunoonyereza kulaga nti Kongai ne Ediangu nga bayambibwako abantu abalala basatu (3) okuli Emmanuel Emedu, Kokas Etapu ne Emmanuel Akwenyu batta Eduo, okusobola okusigala mu laavu yaabwe.

Ageca era agamba nti Ediangu, Emedu, Etapu, Kongai ne Akwenyu oluvanyuma lw’okutta Adou, omulambo gwatwalibwa ne guziikibwa mu lutobazi lwe Akoli.

Oluvanyuma kwekuddukira eri Okodi, okuyambibwa, baleme kusibibwa.

Ageca era agamba nti omusawo w’ekinnansi, yabasaba okuleeta omutwe gw’omuntu eyattibwa ng’emu ku nsonga lwaki baziikula omulambo, ne bagutemako omutwe ne batwala akawanga mu ssabo.

Akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri, Poliisi yakoze ekikwekweeto ku ssabo lya Okodi ku kyalo Moru- Atyang mu Tawuni Kanso y’e Kyere ne bazuula akawunga k’omuntu, amasasi 2 n’enfudu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=Odc20lzOoOM