Isaac Ssenabulya, omutemu eyatta Maria Nagirinya ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa, asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 80.

Enkya ya leero, omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Isaac Muwata, awadde Ssenabulya emyaka 40 olw’okuwamba n’okutta Nagirinya n’emyaka 40 olw’okuwamba n’okutta Kitayimbwa.

Wadde omugate Ssenabulya, asibiddwa emyaka 80, omulamuzi alagidde emyaka gyonna 40, okutambulira awamu era amugiddeko emyaka 3, gy’akulungudde ku limanda bukya akwatibwa mu 2019, nga mu kkomera wakumalayo emyaka 37.

Isaac Ssenabulya

Omulamuzi era agambye nti Ssenabulya yakkiriza emisango n’okwetondera famire, nga y’emu ku nsonga lwaki amusibye emyaka 40, ku Nagirinya ne myaka 40 ku Kitayimbwa.

Ssenabulya y’omu ku bantu 7 abaakwatibwa ku by’okuwamba n’okutta abantu abo, nga 28, August, 2019.

Abalala abali ku misango egyo kuliko Raymond Okori, Hamza Kateregga amanyikiddwa nga Arsenal, John Kisekka, John Lubega, Hasan Kisekka ne Ivan Mutagubya.

Wabula ku Lwokubiri, omuwaabi wa Gavumenti Jonathan Muwaganya, yawadde kkooti ekiwandiiko, okuva mu offiisi ya ssaabawaaabi  wa Gavumenti nga Okori, tebakyamwetaaga musango ogwo era amangu ddala omulamuzi Muwata, yalagidde okumuyimbula.

Naggirinya ne Kitayimbwa  bawambibwa  n’oluvanyuma ne battibwa era emirambo gyabwe negisangibwa nga gisuuliddwa mu disitulikiti y’e Mukono.

Naggirinya yawambibwa mu zzooni y’e Nabisasiro e Rubaga, bwe yali ayingira amakaage era okutwalibwa yali mu motoka ye, ekika kya Spacio namba UBA 570V.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=aMXehSHi3-Q