Ebitongole ebikuuma ddembe bikutte omuntu eyakulemberamu okuluka olukwe lw’okuwamba n’okutta omuwala Maria Nagirinya 28, ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa.

Nagirinya ne Kitayimbwa baawambibwa August 28, 2019 okuva ku ggeeti y’ekikomera Nagirinya we yali asula mu Nabisasiro zooni e Busega mu Lubaga emirambo gyabwe ne bagizuula nga August 30, 2019 mu lusenyi lw’e Nakitutuli e Ttakajjunge mu ggombolola y’e Nama e Mukono nga gibikkiddwaako ebisubi.

Nagirinya yali muwala wa Francis Lubowa omutuuze w’e Nsambya. We baamuwambira, ye yali Project Manager mu kitongole kya Community Integrated Development Initiative (CIDI) eyali avunaanyizibwa ku mazzi n’obuyonjo mu Municsipaali bbiri okuli ey’e Nakawa ne Lubaga.

Okuva lwe yatemulwa, abeebyokwerinda babadde ku muyiggo gw’okuzuula abatemu era mu kaweefube ono, bakwata Coporiyamu Kasolo (Arsenal), Johnson Lubega, Nassif Kalyango ne Hassan Kiseeka abali ku limanda mu kkomera e Luzira.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti Poliisi ng’eyambibwako aba CMI bakutte omuntu eyaluka ddiiru y’okutta Nagirinya ne munne.

Agamba nti omukwate, (amannya gasirikiddwa) agenda kuyambako okubategeeza omuntu omutuufu eyabatuma okutta era mu kiseera kino bamugyemu ebyama ebimu byagaanye okwatukiriza mu mawulire.