Poliisi y’e Jinja ekyanoonya abatemu b’emmundu abasse omukyala n’omusajja, akawungeezi k’olunnaku Olwomukaaga nga 12, November, 2021.

Omukyala Juliet Mirembe n’omusajja Saddam Waiswa baakubiddwa amasasi ne bafiirawo ku ssomero lya Lwanda primary school mu divizoni y’e Jinja North mu kibuga kye Jinja.

Oluvanyuma lw’okutta Mirembe n’omusajja Waiswa, abatemu baatutte emmotoka yaabwe ekika kya Toyota Wish namba UBF 359V.

Poliisi mu kwekebejja ekifo, wazuuliddwa amasasi asatu (3) aga AK-47.

James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira – Jinja agamba nti emmotoka yazuuliddwa ku kyalo Ikaumi mu Tawuni Kanso y’e Kakira mu disitulikiti y’e Jinja nga yasuuliddwa ebbali w’ekkubo.

Emmotoka ezuuliddwa

Abasirikale mu kwekebejja emmotoka, bazudde amasasi 4 aga AK-47.

Mubi agamba nti emmotoka, abagenzi mwe baali batambulira ku lunnaku lwe battibwa era okunoonya abatemu ku kyagenda mu maaso.

James Mubi

Mubi agamba nti balina okunoonya abatemu n’okuzuula ekigendererwa kyabwe, ekyabaviiriddeko okutta abantu.

Ate Poliisi mu disitulikiti y’e Sembabule etandiise okunoonyereza ku ngeri omutemu gye yalumbye omwana omuwala myaka 13 namutemako omutwe.

Omuwala Violah Nangoba abadde asomera ku Nakasunsa Little Stars Primary School yattiddwa ekiro ku Lwokutaano bwe yabadde afulumye mu nju ku ssaawa nga 2 ez’ekiro okukima amazzi mu ttanka ku kyalo Nakasunsa mu ggoombolola y’e Katwe mu disitulikiti y’e Sembabule.

Taata Sam Lutakoome agamba nti mu kiseera ekyo, yabadde akyali mu katawuni ate maama nga mukozi ku Mobile Money, yabadde ekyali ku mulimu.

Okusinzira ku batuuze, omwana yatemeddwa ejjambiya ku nsingo era yagudde wansi nafiirawo.

Muhamad Nsubuga, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savanah, okunoonya omutemu kutandikiddewo n’okuzuula ekituufu, ekyavuddeko omwana okuttibwa.

Mungeri y’emu agumizza abatuuze okusigala nga bakakamu kuba essaawa yonna omutemu, wakuzuulibwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=cf6n7MsRxB8