Kyaddaki Poliisi ekutte omukyala Kobusingye Milly myaka 40 ali ku misango gy’okusalako bba, Tugumisiriza Benon myaka 45 ebitundu by’ekyama, gw’abadde yakazaalira abaana 4.
Tugumisiriza nga musajja musuubuzi era mutuuze ku kyalo Bikurungu mu disitulikiti y’e Rukungiri, yasaliddwako omutaka olunnaku olw’eggulo.
Kigambibwa ye n’omukyala Kobusingye baludde nga balina obutakaanya, olw’omusajja okuwasa omukyala ow’okubiri, akyalimu endasi mu nsonga z’omu kisenge ssaako n’okutegeera obukodyo obuliko.
Olunnaku olw’eggulo mu ekiro ku ssaawa nga 5, omukyala Kobusingye, yakulembeddemu kusendasenda bba okusinda omukwano, era amangu ddala nga bba atuuse mu bwengula, yabadde akooye nnyo era yebakiddewo.
Ku ssaawa 7 ez’ekiro, omukyala Kobusingye yakutte akambe, kwe kusala bba ebitundu by’ekyama era okuva olunnaku olw’eggulo, abadde aliira ku nsiko nga ne bba, akyali mu ddwaaliro ekkulu e Nyakibale.
Wabula Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agambye nti Kobusingye akwattiddwa era asangiddwa mu Katawuni k’e Kabale nga yekwese.
Maate agamba nti essaawa yonna Kobusingye bamutwala mu kkooti.