Kyaddaki ekitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi kifulumizza alipoota ku muwendo gw’abantu, abattiddwa bbomu mu Kampala enkya ya leero.

Bbomu 2 zibwatuse ku ssaawa 4 ez’okumakya, era emu ebwatukidde okumpi n’ekitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS ate endala ku Parliamentary Avenue okumpi ne offiisi za Jubilee.

Wabula okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abatujju bonna, kati z’embuya ezikunta.

Ekibadde ku Jubilee

Enanga ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru, agamba nti ku CPS mu Kampala, omutujju abadde musajja era abadde ayambadde jjaketi n’okuweeka ensawo kyokka bbomu emubwatukiddeko, era olw’amaanyi gaayo, etambudde mita 30, kwe kulumya abasirikale.

Enanga e Naguru

Ate ku Parliamentary Avenue, bbomu ey’okubiri, Enanga agamba nti abatujju bazze nga bali Pikipiki bbiri (2) nga bonna basajja, era bbomu olubwatuse, bombi, bafiiriddewo.

Enanga agamba nti abafudde bali basatu (6) omuli abatujju basatu (3) n’abantu babuligyo basatu (3) ate abatwaliddwa mu ddwaaliro nga bataawa, bali  33 nga 5 bali mu mbeera mbi.