Poliisi ekutte omuyimbi Patrick Mulwana amanyikiddwa nga Alien Skin ku misango egy’enjawulo, okuyambako mu kunoonyereza kwabe.

Alien Skin yakwatiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga, ku fayino z’omupiira gwa masaza e Wankulukuku oluvanyuma lw’okuyimba.

Kigambibwa nga 22, Febwali, 2022, kanyama ku bbaala ya Vox Pub, Ntale Tonny, yakubwa omuyimbi Alien Skin era yafuna obuvune obwamaanyi ku ttama omuli n’okumenyeka amannyo.
Kigambibwa kanyama Ntale yali agezaako okulagira Alien Skin, okugoberera ebiragiro by’okwerinda ng’ali ne banne, okusobola okuyingira mu bbaala.

Ntale yaddukira ku Poliisi y’e Kibuye okuloopa Alien era okuva olwo, Poliisi ebadde emunoonya.

Olunnaku olw’eggulo, Ntale yafunye amawulire nti Alien y’omu ku bayimbi abagenda okuyimba ku mpaka z’amasaza.

Omuyimbi Alien

Amangu ddala yategeezeza ku basirikale okuba bulindaala.

Alien oluvanyuma lw’okuyimba, Poliisi yamukutte era yabadde agezaako okulemesa abasirikale okumutwala ng’ali ne bakanyama wabula Poliisi yasobodde okweyambisa obukodyo obw’enjawulo okumukwata ku ssaawa nga 12 ez’akawungeezi wakati mu ssanyu lwa Busiro okuwangula ekikopo ky’amasaza mu maaso ga Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga.

Alien yatwaliddwa ku Poliisi y’e Kibuye wakati mu byokwerinda.

Alien y’omu, kigambibwa aliko ebbaala eyamuwa ssente okuyimba mu disitulikiti y’e Mukono kyokka nadduka nga tannaba kuyimba.

Okunoonyereza kulaga nti Alien yatuuka ku bbaala ng’abadigize tebannaba kuyingira bulungi era nannyini bbaala yamusaba okulindako, abantu bonna okusobola okuyingira.

Okusinzira ku DJ Fikie, Alien yasaba ssente zonna kyokka okugenda nga tannaba kuyimba, kyavaako abadigize okutabuka.

DJ Fikie agamba nti ku ssaawa 9 ez’ekiro, Alien yakuba essimu ng’ayagala kuyimba mu kiseera ng’abantu bonna bagenze.

Alien ku mpaka za Zzina Awards nga 25, Febwali, 2023 mu Kampala

Alien Skin y’omu ku bayimbi abaliko olw’ennyimba ze omuli Sitya Danger, Tulabise, Lockdown, Mbatisana, Tonkaka n’endala.

Wadde ebitongole byokwerinda byagaana abantu bonna okuddamu okwambala engoye ezifaanagana abeebyokwerinda, Alien Skin y’omu ku bayimbi abaludde nga bazambala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=nBdu4eVGX1k&t=9s