Poliisi y’e Kyengera eri mu kunoonya malaaya ategerekeseeko erya Brenda ku misango gy’obubbi.
Okunoonyereza kulaga nti Brenda okubba ssente za Namugera Herbert myaka 32 obukadde 7, y’emu ku nsonga lwaki yazuuliddwa nga yeetugidde mu loogi Channel 3 mu zzooni y’e Wakimese mu Tawuni Kanso y’e Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso.
Namugera nga yavudde mu disitulikiti y’e Ssembabule yabadde azze mu Kampala okukola ku biwandiiko, okugenda ebweru w’eggwanga okunoonya emirimu.
Mu Kampala, yafunye amaddu g’omukyala kwe kufuna malaaya Brenda okumusanyusa kiro kiramba.
Wabula Brenda yasobodde okulabiriza Namugera era yamubye ssente zonna obukadde 7.
Namugera yakubidde mukwano gwe Lwiga Mohamad essimu okumuyambako ne batwala omusango ku Poliisi y’e Kyengera ku fayiro namba SD REF 21/10/03/2023.
Poliisi yatambudde Kyengera yonna okunoonya Brenda wabula yabadde amaze okudduka.
Ku Lwomukaaga nga 11, March, 2023 ku ssaawa 9 ez’okumakya, abakozi ku loogi baakizudde nti Namugera yabadde amaze okwetugira mu kinaabiro kya loogi.
SSP Patrick Onyango, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti omulambo gwasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.
Onyango agamba nti Namugera yasobodde okweyambisa amasuuka okwetta.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=5Wzg1ExQohc