Poliisi y’e Kabalagala etandiise okunoonyereza ku kivuddeko omukyala Namutosi Farida myaka 47 okwetta.
Namutosi abadde mutuuze ku kyalo Okirigi e Kabalagala, Makindye mu Kampala era yesse olunnaku olw’eggulo.
Wadde abadde mukyala mufumbo, yasangiddwa nga yeetugidde mu nnyumba nga n’omuzukkulu myezi 9 Jemima Karungi naye yasangiddwa nga mufu mu nnyumba munda ku ttaka.
Namutosi Farida yaabadde alabirira Karungi n’omwana wa bba Sekyanzi Shakuru myaka 8 ate bba Saddam Hussein yabadde ku mulimu.
Kigambibwa Namutosi Farida yalagidde omwana Shakuru okugenda okuzannya okusobola okufuna ccaayi wabula okudda awaka nga Namutosi amaze okwetta.
Omwana yakubye enduulu okuyita abatuuze okutaasa wabula okutuuka ng’amaze okufa.
Okunoonyereza kulaga nti Namutosi yamaze kutta Jemima Karungi nga yamutuze, oluvanyuma naye neyatta.
Poliisi y’e Kabalagala etandiise okunoonyereza nga ne mirambo giri mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=1cV2IS35qXg