Abavubuka abaakwatibwa ku misango gy’okwekalakaasa nga babanja Poliisi okusiba abenyigira mu kubulankanya amabaati g’e Karamoja, basindikiddwa ku limanda.

Abavubuka bano, ku Lwokubiri ku makya nga 8, March, 2023, bakeera mu Kampala nga bakutte amabaati n’ekipande okuwandikiddwa ”Ssaabawaabi wa Gavumenti mu bwangu ddala okusiba abantu bonna ababba amabaati’.

Nga batambula okuva ku Jesco mu maaso ga Ppaaka empya, wakati ku kusakaanya nga bagamba nti omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, alemeddwa okusiba, abenyigira mu kubba amabaati, Poliisi yabakwatira ku Min Price.

Poliisi yali ekulembeddwamu akulira Poliisi ku Min Price omusirikale Flavia Musimenta era waliwo okwesika amataayi nga bagezaako okubayingiza ku Poliisi ya Min Price.

Oluvanyuma bonna batwalibwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, bonna 8, basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Asuman Muhumuza wali ku Buganda Road mu Kampala era bonna basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 12, April, 2023.

Mu kkooti, baguddwako omusango gw’okukuba omusirikale ng’ali ku mirimu gye.

Bano kuliko

Najjuma sanyu

Bukenya moses

Ndyasiima nelson

Kawooya Shafif

Batanda Augustine

Nayebale Gilbert

Ssegawa Shafia

Ssemakula Teddy

Olwavudde mu kkooti, omusasi waffe Nakaayi Rashidah awayizaamuko ne munnamateeka w’abasibe Ronald Samuel Wanda era tabadde musanyufu n’omulamuzi Muhumuza okulemesa abantu be, okweyimirirwa ate ng’abamu balwadde.

Ate muwala wa Ssemakula Teddy omu ku basibe Namata Christine, y’omu ku kw’abo abazze mu kkooti ng’alina essuubi, okutaasa nnyina.

Omuwala Namata agamba nti nnyina alina ekizibu ku mutwe era y’omu ku bakyala abakeera okunoonya eky’okulya nga bayita abakyala abetaaga okusiba enviiri ku Galilaaya mu Kampala.

Agamba nti nnyina yabadde ku mirimu gye okukwatibwa wabula ye talina musango.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=TOU-yLBV3hM