Mu kiseera ng’ebitongole byokwerinda omuli Poliisi n’amaggye, bakyanoonya famire z’abantu 5 abadduse e Makindye okwesoga abatujju b’akabinja ka ADF, bangi ku batuuze bakyasobeddwa.

Poliisi egamba nti 5 kuliko Abdul Rashid, Rahuman Abdul, Ashraf Lusiba, Ibrahim Kintu ne Hussein Waligo nga badduse n’abantu abasukka 10.

Okunoonyereza, kulaga nti okudduka baasobodde okutunda ebintu byabwe omuli edduuka ssaako n’ekifo, webaludde nga batundira ennyama.

Maama Nakitto asobeddwa

Olunnaku olw’eggulo, maama Hasifa Nakitto, nga mutuuze ku kyalo Bruno Konge, e Lukuli – Makindye, , agamba nti muwala we  Shakirah Ndagire, yatwaliddwa omusajja Ashraf Lusiba omu ku banoonyezebwa.

Maama Nakitto wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti muwala we Ndagire yafuna olubuto, nga yakamala S6 era yadduse n’omusajja olw’obutamanya nti mutujju.

Kati no, 100.2 Galaxy FM, bw’ebadde ewayamu Lukenge Muhammad, eyasigadde mu kuddabiriza ekifo, webaludde nga batundira ennyama (ku butcher), emu kwezo ezisinga amaanyi e Makindye, agambye nti abasajja baludde nga bantu balungi nnyo.

Lukenge agamba nti mu kiseera nga basemberedde okugenda, ekifo kyalangiddwa nti kitundibwa, ne bekolamu omulimu ne bakigula.

Nareeba Steven awayizaamuko ne Lukenge

Ate omu ku batuuze ng’abadde neyiba ‘ku butcher’, abadduse webaludde nga bakolera emirimu gyabwe, agamba nti Poliisi erina okunoonyereza ennyo, okulaga nti ddala abasajja abo, batujju ba ADF.

Omukyala ono, agamba nti abasajja aboogerwako, bakulungudde emyaka egisukka 7 e Makindye nga bakola emirimu gyabwe.

Nga bwe kiri ku batuuze abalala, ne Hajjati, agamba nti abasajja mu myaka 7, tebalina musango gwonna, babadde bantu balungi ddala.

Wabula Poliisi egamba nti, etandiise okunoonya abantu abo, bakwatibwe era kiteeberezebwa bakyali mu ggwanga tebannaba kufuluma.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=2GFQ8TPVbfA