Omukyala maama Linda avudde mu mbeera, oluvanyuma lw’okudda awaka nga bba ali mu laavu n’omuwala ali mu myaka 20.

Muwala wa neyiba Shami ali ku Yunivasite era maama Linda agamba nti abadde mukwano gwe nga talowooza nti ayinza okudda ku bba.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, yakubidde bba essimu nga takwata, kwe kulinya bodaboda okudda awaka kuba yabadde mulwaddelwadde.

Okutuuka awaka, ng’emmotoka ya bba eri awaka ate nga yabadde alina kubeera ku mulimu.

Ng’omukyala omulala yenna ne maama Linda yafunye okwekengera olwa bba okuba ng’ali waka kyokka nga takwata ssimu ze.

Okutuuka mu ddiiro, ng’amaloozi gava mu kisenge ky’abaana ‘nguwulira gutuuse daddy, nguwulira gutuuse daddy, nguwulira gutuuse daddy, nguwulira gutuuse daddy oli wakabi daddy”.

Maama Linda yakubye omulanga era okutuuka mu kisenge ky’abaana nga bba ali mu laavu ne Shami muwala wa neyiba ate mukwano gwe.

Mu bigambo, yagambye nti, “naye taata linda lwaki onkoze kino, okuleeta omukyala mu nnyumba, oyagala kuleeta ndwadde?”.

Wakati mu kuswala, omusajja yasobodde okutaasa omuwala okudduka ng’ayita mu mulyango gwe manju.

Mu kulwanagana wakati w’omusajja n’omukyala, omukozi yakubye enduulu era abatuuze okutuuka okutaasa nga bali mu kikonde.

Ku ssaawa ng’emu (1) ey’ekiro, omusajja yavudde awaka mu mmotoka ekika kya Noah nga kigambibwa omukyala maama Linda yasigadde mu nnyumba ng’ali mu maziga.

Embeera eno, yabadde Matugga mu disitulikiti y’e Wakiso.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=d_YHpnqSRUU&t=1s