Poliisi y’e Busoga East etandise okunoonyereza ku kyaviriddeko omusajja omusuubuzi Zadoki Kalinaki myaka 40 okwetugira mu loogi ku kyalo Kiwanyi mu disitulikiti y’e Iganga.
Okusinzira ku Yoweri Sarie akulira loogi eno agamba nti omusuubuzi Kalinaki abadde kasitoma waabwe nnyo era abadde aleeta nnyo Bamalaaya okulya obulamu.
Yoweri agamba nti ku Lwokubiri ekiro nga 2, May ,2023, Kalinaki yasobodde okupangisa ekisenge okwesanyusa wabula ku makya ku Lwokusatu, bawaliriziddwa okumenya oluggi nga bayambibwako Poliisi oluvanyuma lw’okuyita Kalinaki okumala essaawa eziwerako nga tavaamu kigambo kyonna.
Okutuuka mu kisenge, amaaso gatuukidde ku mulambo gwa Kalinaki nga gulengejja ku mulaba era yasobodde okweyambisa omuguwa okwetta.
Okunoonyereza kulaga nti Kalinaki mutuuze ku kyalo Kiwanyi mu disitulikiti y’e Iganga era abadde atunda matooke mu katale k’e Iganga okumala ebbanga.
Yoweri Mugo, muganda w’omugenzi agamba nti okuva ku mulimu ekikeerezi, y’emu ku nsonga lwaki bakaanyiza okugenda okufuna loogi okuwumula.
Mugo agamba nti ku ssaawa 11 ez’okumakya, ye n’omugenzi baasabidde wamu, kwe kuddayo mu kisenge kye okwebaka.
Diana Nandawula omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Busoga East agamba nti mu kiseera kino Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekyavuddeko omusajja okwetta.
Mungeri y’emu Poliisi y’e Busoga North etandiise okunoonyereza ku nfa y’omwana Sarah Nakisige abadde omutuuze ku kyalo Bugaga mu disitulikiti y’e Kamuli.
Nakisige yasangiddwa ng’afiiridde mu nimiro ya kasooli.
Yabula okuva awaka omwezi oguwedde Ogwokuna era abadde anoonyezebwa.
Taata w’omugenzi Amis Kazungu asabye Poliisi okunoonyereza okuzuula ekyaviriddeko omwana we okufa.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=MOBBI5GWL3Q
Bya Nakimuli Emilly