Omusirikale wa Poliisi eyasse omuyindi ku Rajja Chambers akwatiddwa.
Ku Lwokutaano nga 12, May, 2023 ku ssaawa nga 7 ez’emisana, ku Raja Chambers wali ku Parliamentary Avenue, Uttam Bhandari, Omuyindi abadde direkita wa TFS financial services yakubiddwa amasasi omusirikale PC Wabwire Ivan namba No.67029.
Ebitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’amagye, okuva ku Lwokutaano babadde mu kunoonya Wabwire mu Kampala okutuusa we baafunye amawulire nti ali mu bitundu bye Busia.


Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, ebitongole ebikuuma ddembe nga bikulembeddwamu addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Busia SP Didas Byaruhanga, byakutte Wabwire Ivan mu Monicipaali y’e Busia.
Wabwire myaka 30 abadde akolera ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS nga mu kiseera kino akuumibwa ku kitebe kya Poliisi e Busia.
SSP Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti entekateeka zitandise okulaba nga Wabwire aleetebwa mu Kampala.

Onyango agamba nti omusirikale abadde abanjibwa ensimbi ezisoba mu bukadde obubiri (2) oluvanyuma lw’okufuna ebbanja okuva mu TFS financial services.
Kigambibwa yabadde alina entekateeka z’okuddamu okwewola era yabadde agenze mu offiisi ya Bhandari okutegeera ebbanja ku ssente ezibanjabibwa.
Okunoonyereza kulaga nti Wabwire okutegeezebwa nti abanjibwa ssente ezisoba mu bukadde obubiri, y’emu ku nsonga lwaki yavudde mu mbeera.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=2rUIJGYgolA