Omusirikale Ivan Wabwire asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga 7, June, 2023.
Enkya ya asiimbiddwa mu maaso g’omulamuzi atwala abalamuzi bonna ku Buganda Road Sarah Tumusiime era aguddwako emisango gy’obutemu.
Constable Wabwire ali ku misango gy’okutta Omuyindi Uttam Bhandari, gwe yakubye amasasi sabiiti ewedde ku Lwokutaano ku Raja Chambers, Kampala, agaamutiddewo.
Okunoonyereza kulaga nti omusirikale Wabwire yasse Bhandari, abadde akulira ekitongole ekiwola ensimbi ekya TFS Financial Services Limited, nga kivudde ku butakaanya ku ssente zeyewola.


Mu kkooti, omulamuzi tamukiriza kubaako kyayogera kuba ali ku misango gya naggomola.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Ivan Kyazze ne Joan Keko, basabye omulamuzi akadde okufundikira okunoonyereza.
Basuubiza okumugyayo ne ku limanda mu kkomera e Luzira, okutwalibwa, okumwekebejja omutwe, okuzuula embeera gy’alimu.
Wabwire aleeteddwa mu kkooti nga talina munnamateeka yenna wadde omuntu yenna mu famire ye.
Waliwo ebigambibwa nti Wabwire alina ebizibu ku mutwe era y’emu ku nsonga lwaki balina okumutwala mu ddwaaliro okuzuula ekituufu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=uuEtBCAgqHo