Omusirikale afumitiddwa ebiso oluvanyuma lw’okumukwata lubona ne muk’omusajja
Attiddwa ye Elly Kamanye myaka 55 nga abatuuze baasobodde okumuyita okukuuma eby’okwerinda ku mbaga ya Emmanuel Gubingu mu ggoombolola y’e Kigarama ku kyalo Rwengiri mu disitulikiti y’e Bushenyi ku Ssande nga 21, May, 2023.
Kamanye yasobodde okujja okukuuma ku mukolo wabula mu kiseera ng’omukolo gugenda mu maaso Kamanye yasobodde okutandiika okukwana Grace Mary Kantebe muganzi wa Ivan Amanya emabega wa ttenti.
Mu kiseera kino, Amanya yasobodde okubakwata lubona mu kikolwa ekiro emabega wa ttenti oluvanyuma lw’okugezaako okunoonya Kantebe baddeyo ewaka nga tamulaba.
Wakati mu kuswala Kantebe yasobodde okudduka okutaasa obulamu wabula Kamanye yasigadde ayombagana ne Amanya.
Okunoonyereza kulaga nti Amanya yeyambisizza ejjambiya okufumita Kamanye mu lubuto oluvanyuma n’adduka okwewonya emiggo gy’abatuuze.
Kamanye yasigadde yenna atonnya musaayi, ng’ali mu mbeera mbi nga bw’asaba abatuuze okumutwala mu ddwaaliro.
Wakati mu kulukusa amaziga, abatuuze baasobodde okuteeka Kamanye ku pikipiki okumutwala mu ddwaaliro lya Kabwohe Health Center IV okufuna obujanjabi obusookerwako oluvanyuma n’atwalibwa mu ddwaaliro ekkulu Mbarara wabula yafudde yakatuusibwa.
Martial Tumusiime omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Bushenyi agamba nti wakati mu kunoonyereza, kizuuliddwa nti Kamanye yali musirikale wa poliisi okuva mu kitongole kya “Crime Preventers” .
Tumusiime agamba nti poliisi yasobodde okukwata Amanya nga mu kiseera kino akuumibwa mu kaduukulu ka poliisi e Kigarama okuyambako mu kunoonyereza.
Muk’omusajja aliira ku nsiko
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ee6pAwItF_E