Abantu 4 basindikiddwa ku limanda ku misango gy’okutta omuntu ne batunda omusaayi gwe.
Bano kuliko Ben Kakuru ne Sam Niwahereza nga bonna bakozi ku Bambocha Bar and Lodges, ekifo omuli bamalaaya ku luguudo lwe Kigongi mu Monicipaali y’e Kabale mu bitundu bye Kigezi.
Abalala kuliko Medard Atwebembeire, maneja wa Standard Hotel ne Amos Turinawe nga mutuuze mu ggoombolola y’e Nyamweru mu disitulikiti y’e Rubanda.
Bali ku misango gy’okutta Conrad Ninsiima nga 13, May, 2023 era omulambo gwe gwazuulibwa ku luguudo lwe Kihumuro-Rushaki ku kyalo Nyamabare mu Monicipaali y’e Kabale.
Omulambo gwa Ninsiima gwazuulibwa nga gusaliddwa ku bulago wabula nga tewali musaayi gwonna.
Kigambibwa nga bali ku lumbe lwa Nisiima, Turinawe yavaayo era amangu ddala yategeeza abantu nti y’omu kwabo, abenyigidde mu kutta Ninsiima.
Turinawe agamba nti Ninsiima yaweebwa eky’okunywa kya Torrero nga bali mu bbaala ya Bambocha Bar and Lodges.
Agamba nti oluvanyuma lw’okunywa nga yenna atamidde, bamutwala mu kasenge kya loogi ku Bambocha Bar and Lodges ng’ali ne banne ne bamusala obulago nga beeyambisa akambe ne bbaafu emyufu.
Turinawe agamba nti oluvanyuma lw’okutta Ninsiima, omusaayi gwaweebwa owa bodaboda ne gutwalibwa ku Lake Bunyonyi.
Mu kkooti y’omulamuzi asookerwako e Kabale Rachael Tabaruka, abakwate tebakkiriziddwa kuvaamu kigambo kyonna kuba bali ku misango gya naggomola.
Basindikiddwa ku limanda mu kkomera lye Ndorwa okutuusa nga 4, July, 2023.
Wabula Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agamba nti ddereeva w’emmotoka eyatwala omulambo okusuulibwa n’owa bodaboda eyatwala omusaayi ku Lake Bunyonyi, bonna bakyaliira ku nsiko.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ee6pAwItF_E