Kyaddaki ssentebe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, asobodde okweyambisa obuyinza bwe mu sseemateeka akawayiro 91 (3) (a) okuteeka omukono ku tteeka erigendereddwamu okulwanyisa ebisiyaga mu ggwanga.

Okusinzira ku sipiika wa Palamenti, Anita Among, Museveni okuteeka omukono ku bbago, Palamenti esobodde okwanukula omulanga bwa bannansi.

Sipiika era agamba nti, etteeka, ligenda kuyamba nnyo okutaasa obuwangwa.

Mu kiwandiiko kye ku mukutu ogwa Twitter, Sipiika atendereza omukulembeze w’eggwanga okusoosowaza ensonga z’abantu ssaako n’abakiise ba Palamenti, abayise mu kusoomozebwa ne bakulembeze ekitiibwa kye ggwanga ne ‘motto’ y’eggwanga ‘For God and our Country’.

Sipiika mu ngeri y’emu asiimye bannayuganda olw’okusabira abakulembeze baabwe mu kiseera nga bateese ku nsonga ez’enkizo.

Mu tteeka okuteekeddwa omukono, singa omuntu yenna yeenyigira mu kulya ebisiyaga, alina kuwanikibwa kalaba ate omuntu yenna amuyambako okutambuza ebisiyaga, wakusibwanga mayisa.

Mu tteeka, mulimu enjawulo wakati w’omuntu akwatiddwa mu kulya ebisiyaga ng’alina okuvunaanibwa ssaako n’omuntu omusiyazi, naye taba na musango okutuusa nga yeenyigidde mu kikolwa.

Mu tteeka lino, nannyini kifo oba ekizimbe singa akkiriza ebikolwa, okolebwa ku kizimbe kye, singa omusango gumusinga, alina okusibwa emyaka 5.

Wabula kinajjukirwa nti mu December, 2013, Palamenti eyali ekubirizibwa sipiika Rebecca Alitwala Kadaga, yayisa etteeka erigoba n’okulwanyisa ebisiyaga mu ggwanga nga lyaleetebwa omubaka we Ndorwa East David Bahati era Pulezidenti Museveni yasooka omukono mu 2014.

Wabula etteeka lyasazibwamu kkooti ya ssemateeka ng’egamba nti etteeka, lyayisibwa ng’omuwendo gw’ababaka abessalira abalina okuba mu Palamenti nga bayisa ensonga yonna tegumala.

Mu mulundi guno, ababaka 348 bakaanya, ebbago ne liyisibwa, erifuuse etteeka.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ee6pAwItF_E