Eyaliko omubaka we Rubaga South Kato Lubwama afudde mu kiro ekikeeseza.

Kato Lubwama ng’abadde musajja muyimbi, munnakatemba, musajja wa DP, afiiridde mu ddwaaliro lya Stana Medical Centre e Bunamwaya ku ssaawa nga 7 ez’ekiro.

Kigambibwa afunye obuzibu ku mutima okwesiba era okumuddusa mu ddwaaliro, gyafiiridde.

Kigambibwa obulwadde bweyongedde ekiro era yagudde wansi mu makaage e Mutundwe. Aba famire okunoonya emmotoka okumutwala mu ddwaaliro, kigambibwa yafudde amangu ddala nga bakafuna Ambulensi okumuddusa mu ddwaaliro nga yafiiridde mu kkubo.

Lubwama

Mu Palamenti ya 10, Kato Lubwama yali mubaka wa Palamenti okuva 2016 okutuusa 2021 wabula mu kulonda kwa 2021, Aloysius Mukasa munnakibiina ki NUP, yamuwangula mu kulonda bwe yali azzeemu okwesimbawo.

Nga 9, Ogwomukaaga, 2017, Kato Lubwama, y’omu kwabo abantu 363 abasiimibwa omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Museveni ne bafuna emiddaali ku lunnaku lw’abazira ku mikolo egyali e Zirobwe mu disitulikiti y’e Luweero.

Lubwama afiiridde ku myaka 52.

Lubwama yazaalibwa nga 16, August, 1970. Mulongo munne Isaac Wasswa yaffa dda.

Lubwama abadde musajja ayogera ekimuli ku mutima era wafiiridde abadde alaga nti ayinza okuddamu okwesimbawo mu 2026.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=awhSeHYVAy0