Oluvanyuma lwa Kato Lubwama okufa, ebipya byongedde okuzuuka.
Kato Lubwama ng’abadde musajja muyimbi, munnakatemba, musajja wa DP, afiiridde mu ddwaaliro lya Stana Medical Centre e Bunamwaya ku ssaawa nga 7 ez’ekiro.
Kigambibwa afunye obuzibu ku mutima okwesiba era okumuddusa mu ddwaaliro, gyafiiridde.
Aba famire bagamba nti obulwadde bweyongedde ekiro era yagudde wansi mu makaage e Mutundwe mu zzooni y’e Kanaala, okunoonya emmotoka okumutwala mu ddwaaliro, kigambibwa yafudde amangu ddala nga bakafuna Ambulensi okumuddusa mu ddwaaliro nga yafiiridde mu kkubo.
Mu kiseera kino bannansi bali mu mbeera ya kiyongobero olw’okufa kwa Lubwama.
Wabula waliwo ebigambibwa nti Kato Lubwana alese ekiwandiiko ekikambwe nga famire balina okukiteeka mu nkola.
Wadde agenda kuziikibwa Nkozi mu disitulikiti y’e Mpigi, Lubwama mbu yalaama kuziikibwa mu nnaku 7.
Singa bateeka mu nkola ekiraamo kya Kato Lubwama, balina okumuziika wiiki ejja ku Lwokubiri.
Kato yali mubaka wa Palamenti okuva 2016 okutuusa 2021 wabula mu kulonda kwa 2021, Aloysius Mukasa munnakibiina ki NUP, yamuwangula mu kulonda bwe yali azzeemu okwesimbawo.
Yazaalibwa nga 16, August, 1970 era afiiridde ku myaka 52.
Nga 9, Ogwomukaaga, 2017, Kato Lubwama, y’omu kwabo abantu 363 abasiimibwa omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Museveni ne bafuna emiddaali ku lunnaku lw’abazira ku mikolo egyali e Zirobwe mu disitulikiti y’e Luweero.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=tYRDaP_Oo3w&t=1s