Sheilah ayogedde amazima olwa vidiyo okufuluma ng’alaga ebbakuli ya Rickman
Omuwala Sheilah Gashumba avuddemu omwasi oluvanyuma lwa vidiyo okufuluma ku Lwokutaano ng’ali bwereere.
Okuva ku Lwokutaano, vidiyo ziri 3 eziri mu kutambula nga Sheilah yazikwata wakati mu laavu.
N’okutuusa olwaleero, tekimanyiddwa nga yafulumiza vidiyo za Sheilah.
Vidiyo ziraga nti Sheilah yazikwata okusanyusa muganzi we Derrick Ddungu amanyikiddwa nga Rickman Manrick.
Wadde Sheilah ku myaka 27 abaddeko mu laavu n’abasajja ab’enjawulo, abadde asobodde okwekuuma, okutangira vidiyo yonna ng’ali bwereere okufuluma.
Oluvanyuma lwa vidiyo okutambula ku mikutu migatta abantu ez’enjawulo omuli WhatsApp, abantu boogedde ebigambo eby’enjawulo, abamu nga bagamba nti omwana alina ‘work’ ate abalala nga bagamba nti wadde alabika bulungi, ‘work’ wambwa.
Wabula Sheilah asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter, akwogera ku vidiyo eziri mu kutambula.
Sheilah agambye nti agenda kusigala nga wamaanyi, ‘I will still stay strong…#strongwomen‘.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=ls42-BxR5Tw&t=4s