Omukyala Zari Hassan ayongedde okulaga nti ddala kafulu nnyo mu nsonga z’okusinda omukwano.
Zari ku myaka 43, alina omulenzi omuto Shakib Lutaaya ali mu myaka 30.
Wadde mukyala muzadde, alina abaana 5 nga yali alina okunoonya omulenzi omuto, ayinza okumuwa essanyu mu nsonga z’omu kisenge oluvanyuma lw’okwawukana n’omuyimbi Diamond Platnumz.
Oluvanyuma lwa Zari okufuna Shakib, obulamu butambula bulungi, mukyala alina essanyu nga n’omulenzi Shakib emirimu abadde agikola bulungi.
Wabula Zari asobodde okukwata vidiyo, okulaga embeera ya Shakib nga mukoowu.
Mu vidiyo, Shakib alaga nti abadde mukoowu nnyo ate Zari alaga nti musanyufu olw’okuba n’omulenzi omuto.
Wabula waliwo obubonero obulaga nti Zari yabadde ava mu kwepicha nga Shakib yabadde akooye nnyo nga yetaaga okuwumula kuba yabadde agikubye bulungi.
Ku myaka 43, Zari y’omu ku bakyala abalabika obulungi era waliwo ebigambibwa nti okufuna omulenzi omuto ayinza okumuwa essanyu mu nsonga z’omu kisenge, eyinza okuba emu ku nsonga lwaki talina situleesi yonna mu nsonga z’omu kisenge.

VIDIYO!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=SIbzr612MfI