Okunoonya abantu ku kyagenda mu maaso mu ggwanga erya Morocco olwa musisi eyayita ku Lwokutaano nga 8, September, 2023.
Agavaayo galaga nti Abaduukirize bakazuula emirambo egisukka mu 2,100 ate abantu abasukka mu 2,421, bebali malwaliro ag’enjawulo okufuna obujanjabi.
Mu kiseera kino, okuyikuula ettaka okuggyamu omulambo oba okutaasa abantu kugenda mu maaso.

Gavumenti ya Morocco erangiridde nti ekkiriza obuyambi okuva mu ggwanga lya Bungereza, Spain, Qatar, UAE, Bufalansa, America n’ensi endala.
Spain esobodde okusindika abantu 86 omuli n’embwa 4 ezikonga olusu, Bungereza abantu 60 n’embwa 4 n’abasawo n’ensi endala.
Abatuuze n’okusingira ddala mu bitundu bye Marrakesh, bali mu kweyambisa nkumbi, okusobola okuzuula abantu baabwe.

Bagamba nti betaaga obuyambi omuli emmere, eby’okunywa naye embeera mbi.
Musisi yalese bingi ku bizimbe nga biri ku ttaka, enguudo zonoonese nga kizibu okutambuza abalwadde okubatwala malwaliro nga nakyo kyavuddeko bangi okufa.

Ebitundu ebirala ebikoseddwa ennyo kuliko Al-Haouz, Amizmiz ne Asni.
Mu kitundu kye Tafeghaghte, abantu abasukka mu 200 bafiiriddewo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=RHgMxz6Pmvk