Shakib ali wakati mu kintu……

Zari Hassan amaliridde okusigala ku musajja omu, oluvanyuma lw’emyaka okutambula nga talina musajja mutongole.

Okusinzira ku kiwandiiko ekiri mu kutambula ku mikutu migatta abantu, Zari agenda kugatibwa mu butongole n’omulenzi we Shakib Lutaaya.

Omukolo gugenda kubeera mu ggwanga lya South Africa ku Lwokubiri nga 3, October, 2023.

Mu kiseera kino Zari mukyala akuliridde mu myaka wadde akyalabika bulungi.

Kigambibwa ali wakati w’emyaka 43 – 48 kyokka bba Shakib akyali mulenzi muto alina emyaka 30.

Zari abadde mu laavu ne Shakib okuva mu 2021 kyokka mu April, 2023, yasalawo okuwa Zari empeta ku mikolo gwa Nikah.

Wadde tekimanyiddwa oba Shakib alina omwana, Zari mukyala muzadde ng’alina abaana bataano (5).

Zari yasooka kufumbirwa Ivan Semwanga kati omugenzi era yafa balina abaana basatu (3). Mu 2013,  Zari yayawukana ne Ssemwanga ku bigambibwa nti yali asukkiridde okumuvuma.

Ssemwana yafuna obulwadde bw’okusanyalala (Stroke) era yatwalibwa mu ddwaaliro lya Steve Biko Academic Hospital mu South Africa.

Nga 25, May, 2017, Ssemwanga yafa era yaziikibwa mu disitulikiti y’e Kayunga.

Yaziikibwa nga 30, May, 2017.

Zari oluvanyuma yaddayo mu South Africa, okuddamu okutambuza obufumbo bwe n’omuyimbi munnansi wa Tanzania Diamond Platnumz era okugenda okwawukana nga balina abaana babiri (2).

Mu kiseera kino ali mu laavu ne Shakib kyokka tebalina mwana yenna.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=F7ondFqDUNg