Yinki 9 ya Shakib ekyamudde Zari

Zari Hassan ayongedde okulaga nti wadde akuliridde mu myaka, ategeera ekintu mukwano.
Wadde Zari asemberedde okuyingira emyaka 50, mukyala akyalabika bulungi, ategeera okulya ku ssente ze.


Okusinzira ku vidiyo eziri mu kutambula ku mikutu migatta abantu n’okusingira ddala Instagram, Zari ayongedde okulumya abasajja abaali bamwepikira.
Mu vidiyo, Zari abadde n’omulenzi we Shakib Cham Lutaaya mu kifo ekimu ekisanyukirwamu.


Shakib ayongedde okulaga nti akola bulungi omulimu gwe ogw’okuwa Zari omukwano n’essanyu era mu bbaala, asobodde okunywegera kabiite we Zari mu lwatu, okulaga nti ddala ategeera omukwano.
Nga 3, October, 2023, Zari yagattibwa mu bufumbo obutukuvu ne Shakib ng’omukolo gwali mu ggwanga lya South Africa.
Zari alaga nti wadde alina abaana abakulu, Shakib ku myaka gye, ategeera bulungi omukwano era alina essuubi, okumuzaalira omwana.

VIDIYO!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=-UA3xZvosUk

Bya Nakimuli Milly