Wavamuno akiguddeko

Abazibu b’emmundu balumbye ekyalo Kasenene – Kiwumu mu ggoombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono ne baleka nga banyaze abatuuze.

Abazigu abatamanyiddwa, bayingiridde amaka g’omukadde Paul Musoke Wavamuno ali myaka 90 ne mukyala we Beatrice Nanyonjo li myaka 60 ne batwala ssente zonna.

Omukyala Nanyonjo, ssaako n’abazukkulu Vincent Kiwanuka ne Joan Nakigudde bonna basibiddwa emiguwa ng’ababbi basaba ssente obukadde 30, ezigambibwa nti zavudde mu kutunda ekibanja.

Omukadde Wavamuno, asobodde okwewozaako nti ye talina nsimbi, era abamukwatammundu, basobodde okwekebejja enju yonna, ne batwala ssente eziri mitwalo 90, ezigiddwa wansi mu Kitanda.

Wabula abatuuze, baakubye enduulu eyasombodde batuuze banaabwe era abazigu mu kudduka, baasudde emmotoka ekika kya Toyota Land cruiser namba UAH 534J, essimu y’omu ngalo emu (1), ekyambalo ekyefaananyiriza ekya Poliisi wabula emmotoka abatuuze bagikubye amayinja ssaako n’okwagala okugikumako omuliro.

Jjajja n’omukyala, bagamba nti ababbi, baatutte ssente zonna ezirina okutambuza obulamu awaka.

Ate omutabani Ssentongo Isaac ssaako n’abazukkulu, nabo, bagamba nti ababbi baakoze effujjo lyonna mu kutwala ebintu.

Mu kiseera kino, Poliisi eyingidde mu nsonga ezo, okunoonyereza okuzuula ababbi.

Addumira Poliisi y’e Naggalama, Simon Syamutsagila agumizza abatuuze ku nsonga y’ebyokwerinda. Agamba nti bakola kyonna ekisoboka okulaba nga bazuula ababbi.

Wabula omubaka w’ekitundu kyabwe  (Mukono North) Abdullah Kiwanuka, asabye Gavumenti okunoonyereza ennyo okuzuula lwaki obubbi bw’emmundu bweyongedde mu ggwanga.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=NOXotVNwB_U