Musajja wa Dr. Col. Kizza Besigye, Adam Mulwana afudde enkya ya leero.
Mulwana ajjukirwa nnyo olw’okuyimba akayimba ka ‘Toka kwa balabala’ mu kulonda kwa 2016.
Mu Kampeyini, Dr. Besigye yalukozesa nnyo era Mulwana yakola nnyo erinnya mu kiseera ekyo.
Mulwana, nga tanaffa, agamba nti ayinza okuba nga yaweebwa obutwa.
Agamba nti waliwo omukyala eyava mu ggwanga lya America, nga mukyala Munyarwanda eyamusaba okumusisinkana era mbu yamuwa ekitundu ku ‘Pizza’, gy’agamba nti eyinza okuba yalimu obutwa.
Abadde mukwano gw’omuyimbi Haruna Mubiru era abadde atawanyizibwa obulwadde bw’ekibuumba.
Agamba nti yategezebwa abasawo nti ekibuumba kirwadde kuba yaweebwa obutwa.
Mu kiseera kino, aba famire tebannaba kuvaayo kufulumya ntekateeka za kuziika.

Amawulira galaga nti Mulwana afiiridde mu Doctor’s Hospital, Seguku mu Kampala ku myaka 32.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=IxCsFC3V_70