Abakulembeze mu disitulikiti y’e Mayuge, basobeddwa olw’engeri abasajja gye begumbulidde okusobya ku baana abato.

Mu kunoonyereza kw’abakul embeze, bagudde ku famire emu nga mulimu abaana basatu (3) nga bonna abali mbutto, nga bonna bakyali bato.

Abaana, nga bonna batuuze ku kyalo Wamondo mu ggoombolola y’e Bukatube, baasobezebwako mu kiseera nga baana bali mu luwumula lwa ttaamu ey’okusatu era bonna bonna kati bali mu mbutto.

Kansala w’omu kitundu Emmanuel Okori, agamba nti abaana abasangiddwa nga bali mbutto kuliko ow’e 16 abadde mu P5, 14 abadde mu P4 ne 12 abadde mu P3 ku ssomero lya Lukindu Primary Schoool mu ggoombolola y’e Bukatube,

Ow’e 16, neyiba nga musajja mufumbo yamutisse olubuto kyokka yagaanye okumulabirira, ow’e 14 omu ku basajja b’oku kyalo yamutisse olubuto era yasabiddwa abazadde okuwasa muwala waabwe, ate ow’e 12, omusajja eyamukubye olubuto, tamanyikiddwako gyali wabula nga naye mutuuze ku kyalo ekyo.

Ow’e 12, olubuto kati myezi 3, ow’e 16 myezi 4.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo ekya Busoga East Daina Nandaula, agamba nti eky’abazadde okusirikira ensonga z’abaana baabwe abasobezeddwako, kyongedde okuwa abasajja emisaka okubasobyako.

Nandaula asuubiza okunoonyereza okulaba nti buli musajja asobya ku mwana mu kitundu kyabwe, atwalibwa mu kkooti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=YrsQ_IljqSA