Wuuno omuwala asobezeddwaako kirindi

Poliisi y’e Nyenga mu Monisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe ekutte omu ku batuuze John Lukwago, agambibwa okulemberamu akabinja akasobya ku bakyala n’abaana abato mu kitundu kyabwe.

Abatuuze bagamba nti Lukwago ng’ali ne banne 2 okuli Mugweri Dennis, baludde nga batigomya abatuuze.

Okwatibwa, waliwo omwana eyattiddwa, oluvanyuma lw’okusobezebwako.

Omwana yatugiddwa era omulambo gwazuuliddwa mu kibira, ekyongedde okutabula abatuuze.

Maama w’omwana Nakintu Justine ne bba Kaggwa David, nga begasse n’abatuuze okulambuza Poliisi ne Minisita omubeezi mu offiisi yamyuka omukulembeze w’eggwanga Diana Mutasingwa ekibira mwebatidde omwana, basabye Poliisi okunoonyereza okutuusa nga bafunye obwenkanya.

Abatuuze boongedde okuvaayo, okulumiriza Lukwago ne banne okubasobyako.

Omu ku bakyala (amannya gasirikiddwa), agamba nti yakwatibwa ne bamutwala mu kasooli ne bamusiba akandooya, okumuteeka ettaka mu kamwa era bamusobyako nga mu kiseera kyo, yali amaze okuzirika.

Omuwala ali mu maziga

Minisita Mutasingwa ne Poliisi, basuubiza okuyingira mu nsonga ezo, okutuusa Lukwago asimbiddwa mu kkooti ssaako n’okunoonya banne.

Ate Poliisi egamba nti Lukwago ali mikono gyabwe era okunoonyereza kukyagenda mu maaso.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=y33P7Xv3pYA