Omusajja akutte kabiite we n’omusiguze

Poliisi ekutte abantu 5 ku misango gy’omusajja eyattiddwa, bwe yasangiriza mukyala we n’omusiguze nga bali mu kaboozi.

Ku Lwokubiri nga 20, February, 2024, Asikaali Dennis Avaga myaka 27 yava ku mulimu gy’akuuma ebikajjo bya Madhvani okudda awaka.

Okutuuka awaka nga mukyala we Agness Agiduru myaka 32 nga mutuuze w’e Kakira ng’ali mu kaboozi n’omusiguze.

Asikaali Dennis okusamba oluggi okutuuka munda nga mukyala we, ali kutenda omusiguze nti kafulu nnyo era asukkulumye ku bba mu nsonga z’okwesa empiki.

Mu ngeri y’okwetaasa, omusiguze yakuba Dennis nannyini mukyala okumulemesa okusinda omukwano era wakati mu kulwana, omusiguze yakutte akambe keyafumise Dennis, omukono, olubuto ne kifuba wabula ekyembi akambe katuuse ku mutima.

Dennis yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro lya Madhvani era mu kiseera kino, omulambo gwe, gukyali mu ggwanika mu ddwaaliro ekkulu e Jinja.

Mu kunoonyereza, Poliisi ekutte abantu 5 omuli

– Omusiguze Raphael Onzima myaka 26 nga mutuuze we Kakira

– Omukyala Agness Agiduru eyavuddeko ettemu

– Neyiba Geofrey Echuku myaka 42, nga yabaddewo ng’abantu balwana kyokka yabadde ali mu kusakaanya.

– Landiloodi Peter Ochen myaka 52 nga yalemeddwa okuloopa omusango ku Poliisi yonna.

– Mukyala wa Landiloodi Pamella Oceng nga kigambibwa yasobodde okweyambisa Baketi okusimuula omusaayi mu nnyumba.

James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kira, agamba nti abakwate essaawa yonna babatwala mu kkooti.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=YapmB-4d-GU