Omusajja Alex Muhumuza myaka 38 nga mutuuze we Kawolo, Lugazi mu Buikwe, akiguddeko era aswadde mu maaso g’abatuuze ku by’omukyala omufumbo.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, yakoze Pulogulamu ne muganzi we Sarah Namagoye, muk’omusajja.

Sarah Namagoye, mukyala mufumbo mu Tawuni Kanso y’e Buwenge mu disitulikiti y’e Jinja.

Muhumuza n’omukyala Namagoye mu loogi

Muhumuza yabadde amaze okupangisa loogi ku Jojo bar and lodge mu Tawuni Kanso y’e Buwenge era ekiro kyonna nga bali mu kwesa mpiki.

Enkya ya leero, abakozi ku loogi bakedde kulambula loogi, kwekusanga Muhumuza ng’alemedde mu Namagoye.

Amangu ddala Poliisi eyitiddwa, abataka ku kyalo ssaako n’abatuuze okwekeneenya embeera.

Omukyala asobodde okuwa Poliisi ennamba ya bba era amangu ddala omusajja atuuse ku loogi.

Omusajja olutuuse, asobodde okukola obukolomooni obw’enjawulo era amangu ddala akubye mukyala we oluyi ku mugongo, Muhumuza navaamu.

Amangu ddala, omusajja ategeezeza omusiguze Muhumuza nti amusonyiye wabula taliddamu kuyimuka mu nsonga z’omu kisenge, okuddamu okulaba ku ssanyu ly’oku nsi olw’okuswaza famire ye.

Muhumuza n’omukyala Namagoye batwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Buwenge okwekebejjebwa oluvanyuma batwalibwe ku Poliisi e Buwenge, okufuna okubulirirwa.

James Mubi agamba nti balina okutuuza ssemaka, omusiguze Muhumuza n’omukyala omufumbo Namagoye, okulaba nga bagonjoola ensonga zonna.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=YapmB-4d-GU