Bobi Wine akubye Mpuuga omusumaali ogusembayo

Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) batabukidde Mathias Mpuuga Nsamba, omubaka we Nyendo – Mukungwe.
Mu Desemba, 2023, Mpuuga yalondebwa ku bwa Kamisona bwa Palamenti okudda mu bigere bya Francis Zaake, omubaka wa Monisipaali y’e Mityana.

Mathius Mpuuga

Okuva 2021, Mpuuga yabadde akulira oludda oluvuganya.
Wabula akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, NUP yafulumizza ekiwandiiko ekiraga nti bagobye Mpuuga ku bwa Kamisona.


NUP yalagidde Mpuuga okulekulira ekifo ky’alimu nga kamisona wa palamenti oluvanyuma lw’okukkiriza nti yenyigira mu bikolwa eby’obuli bw’enguzi.
Kigambibwa Mpuuga yafuna ssente obukadde 500 ng’akasiimo okumwebaza olw’empereza ennungi mu biseera ng’ali mu offiisi ng’omukulembeze w’oludda oluvuganya.
Olunnaku olw’eggulo, Joel Ssenyonyi, akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, agamba nti ku Lwokusatu nga 28, Febwali, 2024, mu lukiiko olwakubiriziddwa Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Mpuuga yakkiriza nti ddala kituufu yafuna ssente obukadde 500 era amangu ddala yasabiddwa okudda ebbali mu bwangu ddala.
Ssenyonyi agamba nti abakulembeze bonna mu NUP balina okutambulira mateeka nga kiswaza ate abakulembeze nga Mpuuga, ate okudda mu kumenya amateeka nga yeenyigira mu kulya enguzi.
Mu kiseera kino, bannakibiina bakyalinze Mpuuga okuvaayo mu lwatu okulangirira nti alekulidde.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=6EyTV35Ovr0