Mathius Mpuuga asekeredde bannakibiina ki NUP, abagamba nti alina okulekulira.

Bannakibiina ki NUP, balumiriza Mpuuga okulya ssente obukadde 500 mbu zaali kasiimo olw’emyaka 2 n’ekitundu gye yamala mu offiisi ng’omukulembeze w’oludda oluvuganya.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, Joel Ssenyonyi, akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, yategezezza nti ku Lwokusatu nga 28, Febwali, 2024, mu lukiiko olwakubiriziddwa Pulezidenti w’ekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), Mpuuga yakkiriza nti ddala kituufu yafuna ssente obukadde 500 era amangu ddala yasabiddwa okudda ebbali mu bwangu ddala kuba yeenyigira mu kulya enguzi n’okusiiga offisi ye enziro.

Mu kiseera nga balinda Mpuuga okulekulira, ate afulumizza ekiwandiiko ekikambwe, nagaana okulekulira ku bwa Kamiinsona bwa Palamenti.

– Mpuuga agamba nti empagi z’ekibiina ki NUP ziri 6 omuli empisa, obuwereza, okwagala eggwanga lye n’endala azimanyi bulungi nnyo n’okusinga bangi ku bannakibiina era agamba nti wakusigala ng’asomesa bannakibiina ku nsonga ez’enjawulo okutegeera obulungi ekibiina.

– Mpuuga era agamba nti emirimu gy’akakiiko ka Palamenti (Parliamentary Commission) girambikiddwa bulungi mateeka era yakola nnyo okusomesa bannakibiina emirimu gy’akakiiko ako.

– Agamba nti akakiiko (Parliamentary Commission) kekalina obuvunaanyizibwa okuwa offiisi zonna ezirondebwamu ssente omuli ne offiisi y’omukulembeze w’oludda oluvuganya, Ssenyonyi mwali mu kiseera kino.

– Agamba akakiiko kalina obuyinza okulabirira ababaka ba Palamenti n’abakulembeze baabwe mu Palamenti n’okusalawo ssente meka buli omu zalina okufuna omuli emisaala, obusiimo, emmotoka n’endala. Agamba nti buli ekisaliddwako akakiiko, birina okusindikibwa eri obukiiko obw’enjawulo obukwatibwako ensonga, okuteeka mu nkola ebisaliddwawo.

– Mpuuga era agamba nti ssente ezisaliddwawo akakiiko kiba kikyamu okuziyita ez’okulya enguzi kuba bibuzabuza abantu olw’abantu okwagala okutuukiriza ebigendererwa byabwe.

– Agamba bwe kiba ssente ezisaliddwawo akakiiko ziyitibwa za nguzi, ababaka bonna abali mu Palamenti n’abo abavaayo, balina okomyawo ssente zonna zebatwala omuli ez’emisaala kuba zonna zasalibwawo akakiiko ka Kaminsona.

– Mpuuga era agamba nti Kampeyini y’okutatana erinnya lye kigenderere era akimanyi bulungi nnyo era waliwo abantu abakiteekamu ssente.

Agamba mwetegefu okuyita mu mbeera yonna naye alina okulwanirira ekibiina kye.

– Mpuuga agamba nti ow’ensonga ezo, agaanye okulekulira nga kaminsona wa Palamenti kuba tewali nsonga yonna lwaki ayinza okulekulira.

 – Agamba nti bannayuganda bonna bategeera bulungi nti emyaka 2½ ng’omukulembeze w’oludda oluvuganya babadde bamulwanyisa omuli n’okupangisa ba bulooga okumuvuma n’okumuswaza.

– – Mpuuga afundikidde ekiwandiiko ng’agamba nti, ” I cannot be deterred by small-group- family interest”

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=e3Q6e7woPks&t=1s